2 Chronicles 3:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'ekiwaawaatiro ky'omukerubi owookubiri nga kiriko emikono etaano, nga kikwata ku kisenge ekirala eky'Ekiggwa, n'ekiwaawaatiro kye ekirala nga kiriko emikono etaano, nga kikwata ku kiwaawaatiro ky'omukerubi eyasoose.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ekiwaawaatiro kya kerubi omulala kyali obuwanvu mita bbiri ne desimoolo ssatu nga kituuka ku ludda lw’ekisenge kya yeekaalu ekirala, n’ekiwaawaatiro ekirala obuwanvu nga kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kerubi oli omulala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiwawaatiro kya kerubi omulala nakyo kyali kiweza emikono etaano, nga kituuka nakyo ku kisenge ky'ennyumba: n'ekiwawaatiro kye ekirala nakyo nga kiweza emikono etaano, era nga nakyo kituuka ku kiwawaatiro kya kerubi munne.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiwaawaatiro kya kerubi omulala, nakyo kyali kya mita bbiri n'obutundu bubiri, nga kituuka ku kisenge ky'Essinzizo. Ate ekiwaawaatiro kye ekirala, nakyo kya mita bbiri n'obutundu bubiri, nga kikwata ku kiwaawaatiro kya kerubi munne.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekiwawaatiro kya kerubi munne kyali kya mikono etaano, nga kituuka ku kisenge ky'ennyumba: n'ekiwawaatiro ekirala nakyo kya mikono etaano, nga kyegatta n'ekiwawaatiro kya kerubi munne.