2 Chronicles 3:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebiwaawaatiro by'abakerubi bombi byali byanjuluze, nga kuwerako emikono amakumi abiri; bo baali bayimiridde ku magulu gaabwe, nga batunuulidde Eddiiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obuwanvu bw’ebiwaawaatiro bya bakerubi bwali mita mwenda awamu, era baasimbibwa ku bigere byabwe, nga batunuuliraganye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebiwawaatiro bya bakerubi bombi nga byanjuluziddwa byali biweza emikono abiri (20). Baali bayimiridde ku bigere byabwe, nga batunuulidde wakati mu ennyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebiwaawaatiro bya bakerubi bombi nga byanjuluziddwa, byali biweza mita mwenda. Bakerubi abo baali bayimiridde nga batunuulidde mu kisenge ky'Essinzizo ekya wakati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebiwawaatiro bya bakerubi abo byebamba emikono amakumi abiri: era baayimirira ku bigere byabwe, n'amaaso gaabwe nga gatunuulira ennyumba.