2 Chronicles 3:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu maaso g'Ekiggwa yassaayo empagi bbiri nga za mikono asatu mu etaano obuwanvu. Zaaliko enkata ku ntwe zaazo buli emu nga ya bugulumivu bwa mikono etaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu maaso ga yeekaalu yassaawo empagi bbiri, obuwanvu bwazo mita kkumi na mukaaga, nga buli emu ku zo eriko omutwe ogwenkana mita bbiri ne desimoolo ssatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu maaso g'ennyumba n'assaawo empagi bbiri, obugulumivu bwazo, emikono asatu mu etaano (35), era nga buli emu eriko omutwe gwa buwanvu bwa mikono etaano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu maaso g'Essinzizo, kabaka n'akolawo empagi bbiri, nga za mita kkumi na ttaano n'ekitundu obugulumivu, era nga buli emu eriko omutwe gwa mita bbiri n'obutundu bubiri obuwanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'akola mu maaso g'ennyumba empagi bbiri, obugulumivu bwazo emikono amakumi asatu mu etaano, n'omutwe ogwali ku zo kinneemu gwali emikono etaano.