2 Chronicles 3:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Empagi yazisimba mu maaso g'Ekiggwa, emu ku mukono ogwa ddyo n'endala ku mukono ogwa kkono; ey'oku mukono ogwa ddyo yagituuma Yakini, ate ey'oku mukono ogwa kkono n'agituuma Bowazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’asimba empagi mu maaso ga yeekaalu, emu ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa ddyo, n’endala ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa kkono. Ey’oku luuyi olw’ebugwanjuba obwa ddyo yagituuma Yakini, n’eyo ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa kkono n’agituuma Bowaazi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'asimba empagi ezo mu maaso ga Yeekaalu, emu ku mukono ogwa ddyo n'ey'okubiri ku gwa kkono; n'atuuma ey'oku mukono ogwa ddyo erinnya lyayo Yakini, n'ey'oku mukono gwa kkono n'agituuma Bowaazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Empagi ezo n'azisimba mu maaso g'Essinzizo, emu ku ludda olwa ddyo, n'endala ku lwa kkono. Ey'oku ludda olwa ddyo n'agituuma Yakini, ey'oku kkono n'agituuma Bowaazi
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'asimba empagi mu maaso ga yeekaalu, emu ku mukono ogwa ddyo n'ey'okubiri ku gwa kkono; n'atuuma ey'oku mukono ogwa ddyo erinnya lyayo Yakini, n'erinnya ly'ey'oku gwa kkono Bowaazi.