2 Chronicles 3:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisasi mu maaso, ekyagenderanga ddala ng'ennyumba bw'egenda mu bugazi, nga kya mikono amakumi abiri; bwo obusimba nga kya mikono kikumi mu abiri. Munda yamaalamu zaabu omwereere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekisasi ekyali mu maaso ga yeekaalu kyali obuwanvu mita mwenda n’obugazi nga kye kimu, n’obugulumivu kyali mita mwenda. Munda mu yeekaalu n’asiigamu ne zaabu ennongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekisasi ekyali mu maaso g'ennyumba, ekipimo kyakyo kyali kya bugazi bwa mikono abiri (20) ng'obugazi bw'ennyumba bwe bwali, n'obugulumivu bwakyo emikono kikumi mu abiri (120). Ekisenge kyakyo munda y'akibikkako zaabu omulongoose.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekisasi eky'omu maaso kyali kyenkana obugazi bwonna obw'Essinzizo, ze mita mwenda, ate mita ataano mu nnya obugulumivu. Ekisenge munda yakibikkako zaabu omulongoose.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekisasi ekyali mu maaso g'ennyumba, obuwanvu bwakyo ng'obugazi bw'ennyumba bwe bwali bwali emikono amakumi abiri, n'obugulumivu kikumi mu abiri: n'akibikkako munda zaabu ennongoofu.