2 Chronicles 3:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiggwa yakitona n'amayinja ag'omuwendo ne zaabu w'e Paruvayimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayonja yeekaalu n’amayinja ag’omuwendo, ne zaabu gwe yakozesa yali zaabu owa Paluvayimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nayooyoota ennyumba n'amayinja ag'omuwendo omungi ne zaabu yaggyibwa e Paluvayimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'awunda Essinzizo n'amayinja ag'omuwendo ennyo ne zaabu eyaggyibwa mu nsi y'e Paruvayimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayonja ennyumba n'amayinja ag'omuwendo omungi olw'obulungi: ne zaabu yali zaabu Eyepaluvayimu.