2 Chronicles 3:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola Ekifo ky'Awatukuvu Ennyo: ng'obuwanvu kyenkana n'obugazi bw'Ekiggwa, kwe kugamba, emikono amakumi abiri obuwanvu n'emikono amakumi abiri obukiika. Ebisenge by'akyo n'abimaalako ne zaabu omulungi, nga wa talenta lukaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’azimba n’Ekifo Ekitukuvu Ennyo, ng’obuwanvu kyenkanankana obugazi bwa yeekaalu, obuwanvu kyali mita mwenda n’obugazi mita mwenda. Munda waakyo n’asiigamu ttani amakumi abiri mu ssatu eza zaabu ennongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'azimba ekifo eky'omunda Ekitukuvu Ennyo, ng'obuwanvu bwakyo nga bwenkana n'obugazi bw'ennyumba: emikono abiri (20). N'akibikkako zaabu omulongoose aweza talanta lukaaga (600).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'azimba ekisenge ekyomunda ekiyitibwa Ekifo Ekitukuvu Ennyo, obuwanvu bwakyo nga bwenkana n'obugazi bw'Essinzizo: mita mwenda mwenda. Zaabu aweza talanta lukaaga ye yakozesebwa okubikka ebisenge by'Ekifo Ekitukuvu Ennyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola ennyumba entukuvu ennyo; obuwanvu bwayo ng'obugazi bw'ennyumba bwe bwali bwali emikono amakumi abiri, n'obugazi bwayo emikono amakumi abiri: n'agibikkako zaabu ennongoofu, eweza talanta lukaaga.