2 Chronicles 30:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya yatuma ababaka mu Yisirayeli yenna ne Yuda n'awandiikira Efurayimu ne Manasse ebbaluwa ng'abayita bajje mu nnyumba y'Omukama mu Yeruzaalemu bakuze Embaga ya Pasika olw'Omukama, Katonda wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Keezeekiya n’aweereza obubaka eri Isirayiri yonna ne Yuda, n’awandiikira ne Efulayimu ne Manase amabaluwa, ng’abayita okujja e Yerusaalemi mu yeekaalu ya Mukama, okukwata Embaga ey’Okuyitako eya Mukama Katonda wa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Keezeekiya n'atumira ab'omu Isiraeri bonna n'ab'omu Yuda, era n'awandiikira ne Efulayimu ne Manase ebbaluwa, bajje mu nnyumba ya Mukama e Yerusaalemi, okukwata Embaga ey'Okuyitako eya Mukama Katonda wa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Heezeekiya n'atumira ab'omu Yisirayeli bonna n'ab'omu Buyudaaya, era n'awandiikira ab'omu kitundu kya Efurayimu n'ekya Manasse, bajje mu Ssinzizo e Yerusaalemu, okukolera Mukama Katonda wa Yisirayeli Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Keezeekiya n'atumira Isiraeri yenna ne Yuda, era n'awandiikira ebbaluwa Efulayimu ne Manase, bajje mu nnyumba ya Mukama mu Yerusaalemi, okukwata Okuyitako eri Mukama Katonda wa Isiraeri.