2 Chronicles 30:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abatwala ebbaluwa ne bagenda kibuga ku kibuga mu nsi ya Efurayimu ne Manasse okutuuka ku Zebuluni, naye abantu ne babanyooma n'okubasekerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ababaka ne bagenda mu buli kibuga mu nsi ya Efulayimu ne Manase, ne batuuka ne mu Zebbulooni, naye abasinga obungi ne babasekerera, ne babaduulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ababaka ne bagenda mu buli kibuga mu nsi ya Efulayimu n'eya Manase, ne batuuka ne Zebbulooni. Naye abantu babasekerera era ne babaduulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ababaka ne bagenda mu buli kibuga, mu kitundu ekirimu ab'Ekika kya Efurayimu ne Manasse, ne batuuka ne mu kitundu kya Zebbulooni. Naye abantu ne babasekerera era ne babajerega.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ababaka ne bayita mu nsi ya Efulayimu n'eya Manase nga babuna ebibuga ne batuuka mu Zebbulooni: naye ne babasekerera nnyo ne babaduulira.