2 Chronicles 30:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mu Yuda omukono gw'Omukama gwali ku bantu, ne gubawa okussa ekimu bonna ne bakola nga kabaka n'abakungu bwe baali balagidde nga bagoberera ekigambo ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mu Yuda, omukono gwa Katonda ne gukwata ku bantu ne bakkiriziganya ku ekyo kabaka n’abakungu kye baalagira, nga bagoberera ekigambo kya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mu Yuda, omukono gwa Katonda ne gukwata ku bantu, ne baba n'omutima gumu, okukola ekyo n'abakungu kye baalagira, nga bagoberera ekigambo kya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Katonda n'ayamba ab'omu Buyudaaya, ne baba n'omutima gumu, okuwulira ekiragiro kabaka n'abakungu be kye baabawa, nga bakolera ku kigambo kya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne mu Yuda ne muba omukono gwa Katonda okubawa omutima gumu n'okukola ekiragiro kya kabaka n'eky'abakulu olw'ekigambo kya Mukama.