2 Chronicles 30:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baagenda mu bifo byabwe ebya bulijjo ng'etteeka lya Musa omuntu wa Katonda bwe ligamba ku bo, bakabona ne bamansira omusaayi Abaleevi gwe baabakwasanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bayimirira mu bifo byabwe ng’etteeka lya Musa omusajja wa Katonda bwe lyali libalagira. Bakabona ne bamansira omusaayi ogwabaweerezebwa Abaleevi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bayimirira mu kifo kyabwe nga bwe baalagirwa mu Mateeka ga Musa, omusajja wa Katonda. Abaleevi ne baweereza bakabona omusaayi bo ne bagumansira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bayimirira mu kifo kyabwe, nga bwe balagirwa mu Mateeka ga Musa omusajja wa Katonda. Abaleevi ne baweereza bakabona omusaayi gw'ebitambiro, bo ne bagumansira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bayimirira mu kifo kyabwe nga bwe baalagirwa ng'amateeka bwe gali aga Musa omusajja wa Katonda: bakabona na bamansira omusaayi gwe baatoolera mu mukono gw'Abaleevi.