2 Chronicles 30:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga bangi mu kibiina baali tebeetukuzza, Abaleevi kyebaava batta obuliga bwa Pasika batambirire Omukama olw'abo abataali balongoofu basobole okugikuliza Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bangi ku bo, baali tebeetukuzizza nga tebasobola kuwaayo ndiga zaabwe; Abaleevi kyebaava battira buli muntu ataali mulongoofu Endiga Ento ey’Embaga ey’Okuyitako, okubatukuza eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mu kibiina mwalimu bangi abaali tebeetukuzizza, Abaleevi kyebaava battira buli muntu ataali mulongoofu omwana gw'endiga ogw'Embaga ey'Okuyitako, okubatukuza eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu baali bakuŋŋaanye, mwalimu bangi abaali tebeetukuzizza. N'olwekyo Abaleevi ne baba n'omulimu okuttira buli muntu ateetukuzizza omwana gw'endiga ogw'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, gulyoke guweebweyo eri Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mu kibiina mwalimu bangi abateetukuzizza: Abaleevi kyebaava balagirwa omulimu ogw'okutta Okuyitako olwa buli muntu ataali mulongoofu, okubatukuza eri Mukama.