2 Chronicles 30:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitundu ekinene eky'abantu abaava mu Efurayimu, Manasse, Yissakari ne Zebuluni baali tebaneetukuza, naye baalya Embaga ya Pasika, newandibadde nga kino kikontana n'etteeka. Kyokka Kezekiya yabasabira, ng'agamba nti: “Omukama omulungi asaasire
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde ng’abantu abasinga abaava mu Efulayimu, ne Manase, ne Isakaali, ne Zebbulooni baali tebeetukuzizza, baalya Embaga ey’Okuyitako, ekyali tekikkiriziganya na biwandiike. Naye Keezeekiya n’abasabira ng’agamba nti, “ Mukama omulungi asonyiwe buli muntu
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Newakubadde ng'abantu abasinga mu baali bavudde mu kika kya Efulayimu, Manase, Isakaali ne Zebbulooni, baali tebeetukuzizza, naye ne bamala galya Okuyitako, naye si nga bwe kyalagirwa. Naye kabaka Keezeekiya n'abasabira ng'agamba nti, “Mukama ow'ekisa asonyiwe buli muntu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mu bantu abangi bwe batyo, bangi mu baali bavudde mu Bika bya Efurayimu, ne Manasse, Yissakaari ne Zebbulooni baali tebeetukuzizza, naye ne balya Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, sso nga si bwe kyalagirwa. Wabula Heezeekiya n'abasabira ng'agamba nti: “Mukama omulungi asonyiwe buli muntu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ku bantu bangi nnyo nnyini, bangi ku Efulayimu ne Manase, Isakaali ne Zebbulooni, baali tebeetukuzizza, naye ne bamala galya Okuyitako naye si nga bwe kyawandiikibwa. Kubanga Keezeekiya yali abasabidde ng'ayogera nti Mukama ow'ekisa asonyiwe buli muntu