2 Chronicles 30:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
buli muntu atadde omutima gwe ku kunoonya Omukama Katonda wa bajjajjaabe, newandibadde nga teyakola ng'amateeka g'Ekiggwa ku bulongoofu bwe gagamba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
amaliridde mu mutima gwe okunoonya Katonda, Mukama Katonda wa bajjajjaabe, newaakubadde nga tabadde mulongoofu okusinziira ku mateeka g’awatukuvu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
amaliridde mu mutima gwe okunoonya Katonda, Mukama Katonda wa bajjajjaabe, newakubadde nga tatukuziddwa nga amateeka ga watukuvu ag'okutukuza bwe gali.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ataddeyo omutima okusinza Katonda, Mukama Katonda wa bajjajjaabe, wadde nga tatukuziddwa ng'okunaazibwa okw'omu Ssinzizo bwe kuteekwa okuba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
asimba omutima gwe okunoonya Katonda Mukama, Katonda wa bajjajjaabe, newakubadde nga talongoosebwa ng'okunaazibwa okw'omu kigwa bwe kuli.