2 Chronicles 30:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'abakungu n'ekibiina kyonna ekiri mu Yeruzaalemu ne basalawo okukuza Pasika mu mwezi ogwokubiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’abakungu be, n’ekibiina kyonna mu Yerusaalemi baasalawo okukwata Embaga ey’Okuyitako mu mwezi ogwokubiri;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka yali ateesezza ne bakungu be, n'ekibiina kyonna ekyali mu Yerusaalemi, okukwata Embaga Okuyitako mu mwezi ogwokubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka yali ateesezza n'abakungu be, n'abantu bonna abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemu, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako bagikolere mu mwezi ogwokubiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kabaka yali ateesezza ne bakulu be n'ekibiina kyonna ekyali mu Yerusaalemi okukwatira Okuyitako mu mwezi ogw'okubiri.