2 Chronicles 30:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya n'agumya Abaleevi bonna abaali bategeera obulungi okuweereza Omukama. Nga bamazeeko ennaku omusanvu ez'okujaguza, nga baweereza ebitambiro eby'okussa ekimu, n'okutendereza Omukama Katonda wa bajjajjaabwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Keezeekiya n’ayogera ebigambo eby’okugumya Abaleevi bonna abaalaga nga bategeera obuweereza bwa Mukama. Abantu ne balya emmere ey’embaga okumala ennaku musanvu, ne bawaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe, ne batendereza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Keezeekiya n'ayogera ebigambo ebizzamu amaanyi Abaleevi abaalaga bwe bamanyi obulungi okuweereza Mukama. Abantu ne bamala ennaku omusanvu nga balya emmere ey'embaga, nga bawaayo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe, era nga beebaza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Heezeekiya n'ayogera ebizzaamu amaanyi Abaleevi abaalaga bwe bamanyi obulungi okuweereza Mukama. Abantu ne bamala ennaku musanvu nga balya ebyali ku mbaga, nga bawaayo ebitambiro eby'okutabagana, era nga beebaza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Keezeekiya n'ayogera ebigambo eby'okusanyusa n'Abaleevi bonna abaalina amagezi mu kuweereza Mukama. Awo ne baliira ennaku omusanvu okumala embaga, nga bawaayo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe, era nga baatulira Mukama Katonda wa bajjajaabwe.