2 Chronicles 30:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya kabaka wa Yuda yawa ekibiina ente ennume lukumi, n'endiga n'embuzi kasanvu; ate abakungu baabawa ente ennume lukumi n'endiga n'embuzi mutwalo mulamba. Bakabona bangi ne beetukuza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Keezeekiya kabaka wa Yuda n’awa ekibiina ente ennume nga nto lukumi n’endiga kasanvu okuba ebiweebwayo, ne bakabona bangi nnyo ne beetukuza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Keezeekiya kabaka wa Yuda, n'awa ekibiina ente ennume lukumi (1,000) n'endiga kasanvu (7,000) okuba ez'ekiweebwayo, n'abakungu ne bawa ekibiina ente lukumi (1,000) n'endiga omutwalo gumu (10,000 ). Ne bakabona bangi nnyo ne beetukuza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga Heezeekiya kabaka wa Buyudaaya, yali abawadde ente lukumi, n'endiga kasanvu ez'okutambira. N'abakungu ne bawa abakuŋŋaanye ente lukumi, n'endiga omutwalo gumu. Ne bakabona bangi nnyo ne beetukuza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Keezeekiya kabaka wa Yuda n'awa ekibiina okuba ebiweebwayo ente lukumi n'endiga kasanvu; n'abakulu ne bawa ekibiina, ente lukumi n'endiga kakumi: ne bakabona bangi nnyo ne beetukuza.