2 Chronicles 30:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina kyonna ekya Yuda kyajaguza, wamu ne bakabona n'Abaleevi, n'abantu bonna abaali bazze okuva mu Yisirayeli, n'abagwira abaali bavudde mu Yisirayeli n'abo abasenze mu Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibiina kyonna ekya Yuda, ne bakabona, n’Abaleevi, n’ekibiina kyonna ekyava mu Isirayiri, n’abagenyi abaali bavudde mu nsi ya Isirayiri, n’abagenyi abaabeeranga mu Yuda ne bajaguliza wamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibiina kyonna ekya Yuda wamu ne bakabona n'Abaleevi n'abantu bonna abaava mu Isiraeri, n'abagenyi abaali mu nsi ya Isiraeri ne mu Yuda, ne basanyuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale abantu bonna ab'omu Buyudaaya, wamu ne bakabona n'Abaleevi, n'abantu bonna abaava mu Yisirayeli, n'abagwira abaali basenze mu Yisirayeli ne mu Buyudaaya, ne basanyuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekibiina kyonna ekya Yuda wamu ne bakabona n'Abaleevi n'ekibiina kyonna ekyava mu Isiraeri n'abagenyi abaava mu nsi ya Isiraeri n'abatuula mu Yuda ne basanyuka.