2 Chronicles 30:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Essanyu ne liba lingi mu Yeruzaalemu, kubanga ekyenkana awo kyali tekibangawo mu Yeruzaalemu okuva mu biseera bya Solomoni mutabani wa Dawudi kabaka wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne waba essanyu lingi mu Yerusaalemi kubanga okuva mu biro bya Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka wa Isirayiri, waali tewabangawo kintu kifaanana bwe kityo mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne waba essanyu lingi mu Yerusaalemi, kubanga okuva mu biseera bya Sulemaani, mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isiraeri, tewabangawo kintu kifaanana bwe kityo mu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibuga Yerusaalemu ne kijjula essanyu. Kubanga waali tewabangawo kiri ng'ekyo, okuva mu biseera bya Solomooni, mutabani wa Dawudi Kabaka wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne waba essanyu lingi mu Yerusaalemi: kubanga okuva mu biro bya Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka wa Isiraeri tewabangawo ebifaanana ebyo mu Yerusaalemi: