2 Chronicles 30:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti baali tebasobodde kugikuza mu budde bwayo, kubanga bakabona abandyetagiddwa baali tebanneetukuza, n'abantu nga tebanneekuŋŋaanya mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
baali tebasobola kukwata mbaga eyo mu kiseera kyayo kubanga bakabona abaali beetukuzizza, baali batono ate nga n’abantu tebanakuŋŋaanira mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga baali tebaasobola kukwata mbaga mu kiseera ekyo, kubanga bakabona baali batono abeetukuzizza, era nga n'abantu tebannakuŋŋaanira e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga tebaasobola kugikolera mu nnaku ezo, ng'omuwendo gwa bakabona abeetukuzizza tegumala era nga n'abantu baali tebakuŋŋaanidde Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tebaayinza kukukwatira mu biro ebyo, kubanga bakabona baali tebannaba kwetukuza abangi ab'okumala, so n'abantu nga tebannakuŋŋaanira e Yerusaalemi.