2 Chronicles 30:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bateesa okulangirira wonna mu Yisirayeli yenna okuva e Beriseba okutuuka ku Daani, nga bayita abantu bajje mu Yeruzaalemu bakulize Omukama Katonda wa Yisirayeli, Pasika; baali tebagikuzangako nga bangi nga bwe kyawandiikibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne basalawo okulangirira mu Isirayiri yenna, okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, nga bategeeza abantu okujja e Yerusaalemi okukwata Embaga ey’Okuyitako eya Mukama Katonda wa Isirayiri; baali batutte ebbanga nga tebagikwata ng’ekibiina ekinene eky’awamu, nga bwe kyawandiikibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne balangirira mu Isiraeri yonna, okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, nga bategeeza abantu okujja e Yerusaalemi okukwata Embaga Okuyitako eya Mukama Katonda wa Isiraeri e Yerusaalemi: kubanga bangi baali tebaagikwatangako nga bwe kiragirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne balagira okulangirira mu Yisirayeli yonna, okuva e Beruseba okutuuka e Daani nti abantu bajje e Yerusaalemu bakolereyo Mukama Katonda wa Yisirayeli Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Kubanga bangi baali tebagikolangako nga bwe kiragirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bassaawo etteeka okulangira okubuna Isiraeri yenna okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, bajje okukwata Okuyitako eri Mukama Katonda wa Isiraeri e Yerusaalemi: kubanga tebaakukwatanga abangi ennyo bwe batyo nga bwe kyawandiikibwa.