2 Chronicles 30:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abatumwa ne bagenda mu Yisirayeli yenna ne Yuda nga kabaka bwe yali abalagidde, ne batwala ebbaluwa kabaka n'abakungu be ze baali bawandiise nga zigamba nti: “Abantu ba Yisirayeli, mukomeewo eri Katonda wa Yiburayimu, Yizaake ne Yisirayeli, naye akomewo gye muli mmwe abaasigalawo, abaasumattuka omukono gwa bakabaka ba Assuri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ababaka ne batwala amabaluwa mu Isirayiri yonna ne mu Yuda okuva ewa kabaka n’abakungu be, ng’ekiragiro kya kabaka bwe kyali nti, “Abantu ba Isirayiri, mudde eri Mukama Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka, ne Isirayiri, Katonda alyoke adde gye muli, mmwe ekitundu ekisigaddewo, ekiwonye omukono gwa bakabaka b’e Bwasuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ababaka ne batwala amabbaluwa mu Isiraeri yonna ne mu Yuda, okuva ewa kabaka n'abakungu be bagenda nga balina ebbaluwa ezaava eri kabaka n'abakulu be, ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali nti, “Mmwe abaana ba Isiraeri, ekitundu ekisigaddewo, ekiwonye okutwalibwa bakabaka b'e Bwasuli, mukyuke mudde eri Mukama, Katonda wa Ibulayimu, Isaaka, ne Isiraeri, naye alyoke adde gye muli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ababaka ne bagenda wonna mu Yisirayeli ne mu Buyudaaya, nga batutte amabaluwa ga kabaka n'abakungu be, ng'alagira nti: “Mmwe Abayisirayeli abasigaddewo nga muwonye okutwalibwa bakabaka ba Assiriya, mukyuke mudde eri Mukama Katonda wa Aburahamu, Yisaaka ne Yisirayeli, naye alyoke adde gye muli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ababaka ne bagenda nga balina ebbaluwa ezaava eri kabaka n'abakulu be okubuna Isiraeri yonna ne Yuda, era ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali, nti Mmwe abaana ba Isiraeri, mukyukire nate Mukama Katonda wa Ibulayimu, Isaaka, ne Isiraeri, akomewo eri ekitundu kyammwe ekifisseewo ekiwonye mu mukono gwa bakabaka b'e Bwasuli.