2 Chronicles 30:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muleke kufuuka nga bajjajjammwe ne baganda bammwe, abataali beesigwa eri Omukama Katonda wa bajjajjaabwe, n'abafuula matongo nga nammwe bwe mulaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temuba nga bajjajjammwe ne baganda bammwe abataali beesigwa eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n’abafuula ekyelolerwa, nga bwe mulaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So temuba nga bajjajjammwe ne baganda bammwe abaanyiiza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, n'abawaayo okuzikirizibwa nga bwe mulaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era muleme kuba nga bajjajjammwe ne baganda bammwe abaanyiiza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, n'abawaayo okuzikirizibwa nga bwe mulaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So temufaanana bajjajjammwe ne baganda bammwe abaasobyanga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'okuwaayo n'abawaayo eri okuzikirira nga bwe mulaba.