2 Chronicles 30:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno muleke kukakanyaza nsingo zammwe nga bakitammwe bwe baakola, wabula mugondere Omukama. Mujje eri Ekiggwa kye, kye yatukuza emirembe gyonna; muweereze Omukama Katonda wammwe, obusungu bwe obwesera bulyoke bubaveeko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
So temuba ba nsingo nkakanyavu nga bajjajjammwe bwe baali, naye mukkakkane eri Mukama, mujje mu watukuvu we, we yatukuza emirembe gyonna, muweereze Mukama Katonda wammwe, obusungu bwe bubaveeko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mmwe temuba ba nsingo nkakanyavu nga bajjajjammwe bwe baali; naye mweweeyo eri Mukama, mujje mu nnyumba ye gye yatukuza emirembe gyonna, muweereze Mukama Katonda wammwe, ekiruyi kye kibaveeko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mmwe temuguguba nga bajjajjammwe, naye mweweeyo eri Mukama, muyingire mu Ssinzizo lye, lye yatukuza emirembe gyonna, musinze Mukama Katonda wammwe, alyoke alekere awo okubasunguwalira ennyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mmwe temuba ba nsingo nkakanyavu nga bajjajjammwe bwe baali; naye mweweeyo eri Mukama, muyingire mu kigwa kye kye yatukuza emirembe gyonna, muweereze Mukama Katonda wammwe, ekiruyi kye ekikambwe kikyuke kibaveeko.