2 Chronicles 30:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe bwe munaaba mukomyewo eri Omukama, baganda bammwe n'abaana bammwe bajja kugirirwa ekisa abaabawamba, bakomewo mu nsi eno, kubanga Omukama Katonda wammwe musaasizi era wa kisa; tajja kulekayo kubatunuulira, bwe munaaba nga mukyukidde gy'ali.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe munadda eri Mukama, olwo ne baganda bammwe n’abaana bammwe banaalaba ekisa mu maaso g’abo abaabawamba, ne bakomawo mu nsi eno. Mukama Katonda wammwe wa kisa era ajjudde okusaasira, so taakyuse maaso ge, okubavaako bwe munadda gyali.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bwe munaakyuka ne mudda eri Mukama, olwo baganda bammwe n'abaana bammwe banaalaba ekisa n'okusaasirwa mu maaso g'abo abaabatwala nga basibe, ne bakomawo mu nsi eno: kubanga Mukama Katonda wammwe wa kisa, asaasira, so taakyuse amaaso ge, okubavaako bwe munadda gyali.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga bwe munaakyuka ne mudda eri Mukama, abo abaatwala baganda bammwe n'abaana bammwe, bajja kubakwatirwa ekisa, babaleke bakomewo mu nsi eno. Kubanga Mukama Katonda wammwe wa kisa, era asaasira. Tajja kubakuba mabega nga mukomyewo gy'ali.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe munaakyukira nate Mukama, baganda bammwe n'abaana bammwe baliraba okusaasirwa mu maaso g'abo abaabatwala nga basibe, ne bakomawo mu nsi eno: kubanga Mukama Katonda wammwe wa kisa, asaasira, so taakyusenga amaaso ge okubavaako, mmwe bwe munaddanga gy'ali.