2 Chronicles 31:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino byonna bwe byaggwa, abantu ba Yisirayeli abaaliwo ne bafuluma ne bagenda mu bibuga bya Yuda ne bamenyaamenya amayinja amasimbe, ne batemawo empagi za Asera. Baasenda ebifo ebigulumivu, n'emyaliiro ne bagisaanyaawo wonna mu Yuda, mu Benyamiini, mu Efurayimu ne mu Manasse. Bwe baamala okubisaanyizaawo ddala, abantu ba Yisirayeli ne baddayo mu bibuga byabwe, na buli omu ku butaka bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo byonna bwe byaggwa, Abayisirayiri bonna abaaliyo ne bagenda mu bibuga bya Yuda, ne baasaayasa amayinja agaasinzibwanga, ne bamenyaamenya n’empagi za Baasera. Ne basaanyizaawo ddala ebifo ebigulumivu n’ebyoto ebyali mu Yuda, ne mu Benyamini, ne mu Efulayimu ne mu Manase. Awo Abayisirayiri bwe baamala okubisaanyaawo byonna, ne baddayo mu bibuga byabwe, ku butaka bwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ebyo byonna bwe byaggwa, Abaisiraeri bonna abaali bali awo ne bagenda mu bibuga bya Yuda, ne bamenyaamenya empagi ez'amayinja, ne bifaananyi bya Asera, ne basaanyizaawo ddala ebifo ebigulumivu n'ebyoto ebyali mu Yuda, mu Benyamini, mu Efulayimu ne mu Manase. Awo abaana ba Isiraeri bonna ne baddayo ewaabwe mu bibuga byabwe, mu butaka bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo byonna bwe byaggwa, Abayisirayeli bonna abaali bali awo ne bagenda mu bibuga bya Buyudaaya, ne bamenyaamenya empagi ez'amayinja n'ebifaananyi bya lubaale Asera, ne zaalutaari, ne baseeteeza n'ebifo ebigulumivu bye basinzizaamu. Ne bakola bwe batyo mu bitundu byonna ebya Yuda ne Benyamiini ne Efurayimu ne Manasse, okutuusa lwe baabizikiririza ddala byonna. Awo Abayisirayeli bonna ne baddayo mu bibuga by'ewaabwe buli omu ku butaka bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ebyo byonna bwe byaggwa, Isiraeri yenna abaali bali awo ne bavaayo ne bagenda mu bibuga bya Yuda, ne bamenyaamenya empagi, ne batemaatema Baasera, ne bamenyera ddala ebifo ebigulumivu n'ebyoto mu Yuda yonna ne Benyamini, era ne mu Efulayimu ne Manase, okutuusa lwe baabizikiriza byonna. Awo abaana ba Isiraeri bonna ne baddayo buli muntu mu butaka bwe, mu bibuga byabwe bo.