2 Chronicles 31:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Azariya kabona omukulu ow'omu ssiga lya Zadoki n'amwanukula nti: “Okuva abantu lwe baatandika okuleeta ebitone mu nnyumba y'Omukama, tulya ne tukkuta, bingi ne bifikkirawo, kubanga Omukama yawa omukisa abantu be; enkumuliitu eyo yonna bye byalemawo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Azaliya kabona asinga obukulu ow’omu nnyumba ya Zadooki n’amuddamu nti, “Okuva abantu lwe baatandika okuleeta ebirabo byabwe mu yeekaalu ya Mukama, tubadde n’ebyokulya ebiwera n’ebirala ne bifikkawo, kubanga Mukama awadde abantu be omukisa, n’ebifisseewo bye bino obungi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Azaliya kabona asinga obukulu ow'omu nnyumba ya Zadoki n'amuddamu nti, “Okuva abantu lwe baatandika okuleeta ebitone mu nnyumba ya Mukama, tulya emmere ne tukkuta ne tulemerwanawo, kubanga Mukama awadde abantu be omukisa, n'ebyo ebifisseewo bye nkana wano obungi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Azariya Ssaabakabona ow'omu nnyumba ya Zadooki n'amugamba nti: “Abantu okuva lwe baatandika okuleeta ebiweebwayo mu Ssinzizo, tulya emmere ne tukkuta ne tulemerwanawo, kubanga Mukama awadde abantu be omukisa, ne tusobola n'okusigazaawo emmere eno.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Azaliya kabona asinga obukulu ow'omu nnyumba ya Zadoki n'amuddamu n'ayogera nti Abantu kasookedde batanula okuleeta ebitone mu nnyumba ya Mukama, nga tulya nga tukkuta nga tulemerwa ddala: kubanga Mukama awadde abantu be omukisa; n'ebyo ebifisseewo bye bintu bino ebyenkanidde awo.