2 Chronicles 31:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wansi wa Konaniya ne Simeyi muganda we waaliyo abalabirizi Yekiyeli, Azaziya, Nakati, Asaweli, Yerimoti, Yozabadi, Eliyeli, Yisumakiya, Makati ne Benaaya nga balondeddwa kabaka Kezekiya ne Azariya eyali omukulu w'Ekiggwa kya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekyeri, ne Azaziya, ne Nakasi, ne Asakeri, ne Yerimosi, Yozabadi, ne Eryeri, ne Isumakiya, ne Makasi ne Benaya be baabayambangako. Konaniya ne Simeeyi muganda we, baalondebwa Kabaka Keezeekiya ne Azaliya omukungu omukulu eyavunaanyizibwanga yeekaalu ya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekyeri, Azaziya, Nakasi, Asakeri, Yerimosi, Yozabadi, Eryezi, Isumskiya, makasi ne Benaya be baabayambangako, baalondebwa Keezeekiya kabaka ne Azaliya omukulu w'ennyumba ya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate Yehiyeeli ne Azizaaya, ne Nahati, ne Asaheeli, ne Yerimooti ne Yozabadi, ne Eliyeeli, ne Yisumakiya, ne Mahati ne Benaaya be baali ku gw'okulabirira, nga bayamba ku Kononiya ne Simeeyi muganda we, nga balondeddwa Heezeekiya Kabaka ne Azariya omukungu akulira Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Yekyeri, ne Azaziya, ne Nakasi, ne Asakeri, ne Yerimosi, ne Yozabadi, ne Eryezi, ne Isumakiya, ne Makasi, ne Benaya be baali balabirizi wansi w'omukono gwa Konaniya ne Simeeyi muganda we olw'ekiragiro kya Keezeekiya kabaka ne Azaliya omukulu w'ennyumba ya Katonda.
Recommended Reading