2 Chronicles 31:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaamuyambangako mu bwesimbu, eyo mu bibuga bya bakabona okugabirira bakabona bannaabwe, abato n'abakulu, nga bagoberera ebibinja byabwe, baali: Edeni, Miniyamini, Yeswa, Semaaya, Amariya, ne Sekaniya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Edene, ne Miniyamini, ne Yesuwa, ne Semaaya, ne Amaliya ne Sekaniya, be baamuyambangako n’obwesigwa mu bibuga bya bakabona okugabiranga bakabona bannaabwe ng’ebibinja byabwe bwe byali, abakulu n’abato.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Edene, Miniyamini, Yesuwa, Semaaya, Amaliya, ne Sekaniya, nga be basajja abeesigwa abaamuyambangako mu bibuga bya bakabona, okugabiranga baganda baabwe ebintu mu bibinja byabwe, abakulu n'abato.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Edeni ne Miniyamini ne Yeswa ne Semaaya, Amariya, ne Sekaniya, be basajja abeesigwa abaamuyambangako mu bibuga bya bakabona, okugabira baganda baabwe ebintu mu bitongole byabwe, abakulu n'abato.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era wansi w'oyo Edene ne Miniyamini ne Yesuwa ne Semaaya, Amaliya ne Sekaniya, mu bibuga bya bakabona, mu mulimu gwabwe ogwalagirwa, okuwanga baganda baabwe mu mpalo, abakulu era n'abato: