2 Chronicles 31:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era baagabiranga n'abasajja bonna okuva ku w'emyaka esatu n'okwambuka abaali bawandiikiddwa mu bitabo by'endyo, bonna abaali bayingira mu Kiggwa ky'Omukama okutuukiriza ebisanja byabwe ebya buli lunaku n'okukola emirimu gyabwe emirala okusinziira ku mirimu gyabwe n'ebibinja byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era baagabiranga n’abalenzi ab’emyaka esatu n’okukirawo abaali babalibbwa ng’okuzaalibwa kwe mbala bwe kwalinga, abo bonna abayingiranga mu yeekaalu ya Mukama okutuukirizanga emirimu gyabwe nga bwe kyabagwaniranga, mu bibinja byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okwo tekwali abo abaali bawandiikiddwa mu kitabo ekiraga endyo z'obuzaale bwabwe nga bwe ziri, abasajja n'abaana ab'obulenzi bonna, okuva ku myaka esatu n'okusingawo, abo bonna abayingiranga mu nnyumba ya Mukama, okukola emirimu gyabwe nga bwe kyabagwaniranga, mu mpalo zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwo tekwali abo abaali bawandiikiddwa mu kitabo ekiraga ennyiriri z'obuzaale bwabwe nga bwe ziri, abasajja n'abaana ab'obulenzi bonna, okuva ku myaka esatu egy'obukulu n'okusingawo, abaagendanga mu Ssinzizo okuweereza mu mpalo z'ebitongole byabwe. Eyo bo gye baafunanga omugabo gwabwe ogwa buli lunaku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obutassaako abo abaabalibwa ng'okuzaalibwa kw'abasajja bwe kwali, abaakamaze emyaka esatu n'okukirawo, buli eyayingira mu nnyumba ya Mukama, ng'ebyagwanira buli lunaku bwe byali, olw'okuweereza kwabwe mu ebyo bye baalagirwa, ng'empalo zaabwe bwe zaali;