2 Chronicles 31:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baagabiranga ne bakabona abaali mu bitabo by'endyo z'ennyumba za bajjajjaabwe, n'Abaleevi okuva ku w'emyaka abiri n'okusingawo nga bwe baali mu mirimu gyabwe n'ebisanja byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bagabiranga ne bakabona abaabalibwa ng’enzaalwa mu kubala okw’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, n’Abaleevi abaali ab’emyaka amakumi abiri n’okukirawo ne babagabira ng’eby’obuvunaanyizibwa bwabwe mu bibinja byabwe bwe byali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagabiranga ne bakabona abaabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe n'Abaleevi abaali bawezezza emyaka abiri (20) n'okukirawo, ne babagabira ebyabwe ng'empalo zaabwe bwe zaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona baawandiikibwanga obuzaale bwabwe okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe nga bwe ziri. N'Abaleevi baawandiikibwanga okuva ku b'emyaka amakumi abiri egy'obukulu n'okusingawo okusinziira ku mirimu gye baakolanga mu bitongole byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abo abaabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali ku bakabona ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, n'Abaleevi abakamaze emyaka amakumi abiri n'okukirawo, mu ebyo bye baalagirwa ng'empalo zaabwe bwe zaali;