2 Chronicles 31:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baagabiranga n'abaali mu bitabo by'endyo: bonna abaana baabwe, bakazi baabwe, batabani baabwe, bawala baabwe ab'omu kibiina kyonna, kubanga bano baalinga beesigwa mu kwekuuma nga batukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwo mwe mwali abaana abato, n’abakyala, ne batabani baabwe, ne bawala baabwe ng’ebitundu byabwe bwe byali biwandiikiddwa mu byafaayo eby’okuzaalibwa. Ne babeera beesigwa mu kwekuuma nga batukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwo mwe mwali bakazi baabwe, n'abaana baabwe abato n'abakulu, ab'obulenzi n'ab'obuwala, abaawandiikibwa ng'okuzaalibwa kwabwe, kubanga beetukuza okukola omulimu gwabwe ekiseera kyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona baawandiikibwanga wamu ne bakazi baabwe n'abaana baabwe abato n'abakulu, ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'ab'omu maka gaabwe bonna, kubanga baabanga beesigwa ku mulimu gwabwe ne beekuuma nga batukuvu okukola omulimu gwabwe ekiseera kyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abo abaabalibwa ng'okuzaabwa kwabwe bwe kwali ku baana baabwe bonna abato, abakazi baabwe ne batabani baabwe ne bawala baabwe, okubuna ekibiina kyonna: ubanga beetukuza mu butukuvu mu mulimu gwabwe ogwalagirwa: