2 Chronicles 31:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo bakabona, bazzukulu ba Aroni, abaasulanga ku malundiro agali ku bibuga byabwe oba ku bibuga ebirala byonna, bassibwako abasajja abatongole ab'okugabiranga emigabo buli musajja mu bo, ne mu bonna abaalinga mu bitabo by'endyo z'Abaleevi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bazzukulu ba Alooni, bakabona abaabeeranga ku ttaka okwalimibwanga, eryabanga ery’ebibuga byabwe, mu buli kibuga, buli musajja mu bo yaweebwa omugabo, n’abo bonna abaali bawandiikiddwa mu byafaayo eby’okuzaalibwa kw’Abaleevi, nabo ne bagabana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bazzukulu ba Alooni, bakabona abaali mu nnimiro ez'omu byalo eby'ebibuga byabwe, mu buli kibuga, buli musajja mu bo yaweebwa omugabo, n'ab'Abaleevi bonna abaali bawandiikiddwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebikwata ku bazzukulu ba Arooni, bakabona abaabeeranga mu nnimiro ez'omu byalo eby'ebibuga byabwe waaliwo abantu abamanyiddwa n'amannya gaabwe, abaaweebwa omulimu ogw'okuwanga omugabo buli musajja abalirwa mu bakabona na buli Muleevi eyawandiikibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era olwa batabani ba Alooni bakabona abaali mu nnimiro ez'omu byalo eby'ebibuga byabwe, mu buli kibuga kinnakimu, mwalimu abasajja abaayatulwa amannya gaawe okuwa emigabo abasajja bonna ab'omu bakabona n'abo bonna abaabalibwa ng'okuzaalibwa bwe kwali mu Baleevi.