2 Chronicles 31:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu buli kyonna kye yessaako okukola olw'Ekiggwa kya Katonda, oba olw'okutuukiriza etteeka n'ebiragiro, yanoonyanga Katonda we n'omutima gwe gwonna, ebintu ne bimulamira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli mulimu gwe yatandika mu buweereza mu yeekaalu ya Katonda, ng’agoberera amateeka n’ebiragiro, yanoonyanga Katonda we, era n’akolanga n’omutima gwe gwonna, n’alaba omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli mulimu gwonna gwe yatandika mu kuweereza okw'omu nnyumba ya Katonda, ng'agoberera amateeka ne biragiro, n'okunoonya Katonda we n'agukola n'omutima gwe gwonna, n'alaba omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yafuna omukisa, kubanga buli mulimu gwe yatandika ogw'okuweereza mu Ssinzizo, n'okukuuma Amateeka n'ebiragiro n'okusinza Mukama Katonda we, yagukola n'omutima gwe gwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omulimu gwonna gwe yatandika mu kuweereza okw'omu nnyumba ya Katonda ne mu mateeka ne mu biragiro okunoonya Katonda we n'agukola n'omutima gwe gwonna, n'alaba omukisa.