2 Chronicles 31:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka yawanga emigabo ng'aggya ku bibye olw'ekitambiro ekyokye ekya buli nkya n'akawungeezi, eky'oku Sabbaato, eky'oku mbaga y'Okuboneka kw'Omwezi, n'eky'oku mbaga enkulu eziragiddwa, nga bwe kyawandiikibwa mu tteeka ly'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’awaayo ku byobugagga bwe ebiweebwayo ebyokebwa eby’enkya n’eby’akawungeezi, n’ebiweebwayo ebyokebwa ebya ssabbiiti, n’eby’emyezi egyakaboneka, n’assaawo n’embaga ezaalagirwa nga bwe kyawandiikibwa mu tteeka lya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'atoola ku bintu ebibye ku bubwe, n'awaayo omutemwa ogw'ebiweebwayo ebyokebwa eby'enkya n'eby'akawungeezi, n'ebiweebwayo ebya Ssabbiiti n'eby'emyezi egyakaboneka n'eby'embaga ezaalagirwa nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'atoola ku bintu ebibye ku bubwe, n'awaayo omutemwa ogw'ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli nkya n'akawungeezi n'ebya buli Sabbaato, n'ebya buli mbaga ey'okuboneka kw'omwezi n'eby'embaga zonna eziragirwa, nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka ga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'assaawo omugabo gwa kabaka ogw'oku bintu bye olw'ebiweebwayo ebyokebwa, olw'ebiweebwayo ebyokebwa eby'enkya n'eby'akawungeezi, n'ebiweebwayo ebya ssabbiiti n'eby'emyezi egyakaboneka n'eby'embaga ezaalagirwa nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama.