2 Chronicles 31:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yalagira abantu abasula mu Yeruzaalemu bawenga emigabo gya bakabona n'Abaleevi, bo basobole okwemalira ku tteeka ly'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alagira abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi okuwangayo omugabo nga bwe kyali kibagwanira eri bakabona n’Abaleevi, nabo beeweerengayo ddala nga bwe kyalagirwa mu tteeka lya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'alagira abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi okuwangayo omugabo gwa bakabona n'Abaleevi, era nabo beeweerengayo ddala nga bwe kyalagirwa mu mateeka ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'alagira abantu ab'omu Yerusaalemu okuwangayo omugabo ogw'okuyimirizaawo bakabona n'Abaleevi, basobolenga okwewaayo okutuukiriza Amateeka ga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate n'alagira abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi okuwangayo omugabo gwa bakabona n'Abaleevi, beeweeyo eri amateeka ga Mukama.