2 Chronicles 31:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiragiro olwalangirirwa, Abayisirayeli ne baleeta ebibala ebisooka eby'eŋŋano, evviini ensu, omuzigo, omubisi gw'enjuki, ne ku byonna ebikungulwa mu nnimiro; ne baleeta mu bungi ekyekkumi ku buli kimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekiragiro ekyo bwe kyabuna wonna, amangwago Abayisirayiri ne bawaayo ku bibala byabwe ebibereberye bingi eby’eŋŋaano, n’ebya wayini omusu, n’eby’amafuta, n’eby’omubisi gw’enjuki ne ku ebyo byonna ebyava mu nnimiro. Ne baleeta bingi nnyo, ekitundu eky’ekkumi ku buli kintu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekiragiro ekyo bwe kyabuna, amangu ago abaana ba Isiraeri ne baleeta mu bungi ebibereberye eby'eŋŋaano n'omwenge, amafuta ag'Omuzeyituuni, omubisi gw'enjuki n'ebibala byonna eby'omu nnimiro. Ne baleeta bingi nnyo, ekitundu eky'ekkumi ku buli kintu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiragiro ekyo bwe kyalangirirwa, Abayisirayeli ne baleeta mu bungi ebisooka okukungulwa eby'eŋŋaano n'omwenge, eby'omuzigo ogw'emizayiti, n'omubisi gw'enjuki, n'eby'ebirime byabwe byonna, n'ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'ebintu byabwe byonna. Ne baleeta bingi nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo etteeka bwe lyalangirwa, amangu ago abaana ba Isiraeri ne baleeta bingi nnyo ebibereberye eby'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta n'omubisi gw'enjuki n'ebibala byonna eby'omu nnimiro, n'ekitundu eky'ekkumi eky'ebintu byonna ne bakireeta, bingi nnyo.