2 Chronicles 31:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abantu ba Yisirayeli n'abantu ba Yuda nga basula mu bibuga bya Yuda, ne baleeta ekyekkumi ku nte ne ku ndiga, n'ekyekkumi ky'ebintu ebisingiddwa Omukama Katonda waabwe; ne baleeta entuumu n'entuumu z'ebintu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ba Isirayiri ne Yuda abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, nabo ne baleeta ekimu eky’ekkumi ku nte n’endiga, n’ekimu eky’ekkumi eky’ebintu ebyatukuzibwa ebyayawulirwa Mukama Katonda waabwe, ne babituuma entuumo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri n'ab'omu Yuda abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, nabo ne baleeta ekitundu eky'ekkumi eky'ente n'endiga, n'ekitundu eky'ekkumi eky'ebintu ebyawongebwa ne byawulirwa Mukama Katonda waabwe, ne babituuma entuumo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'omu Yisirayeli n'ab'omu Buyudaaya abaali babeera mu bibuga bya Buyudaaya ne baleeta ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'omuwendo gw'ente n'endiga zaabwe n'ekimu eky'ekkumi eky'ebintu ebyawongebwa ne byawulirwa Mukama Katonda waabwe. Ne babituuma entuumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri ne Yuda abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, era nabo ne baleeta ekitundu eky'ekkumi eky'ente n'endiga, n'ekitundu eky'ekkumi eky'ebintu ebyawongebwa ebyayawulirwa Mukama Katonda waabwe, ne babituuma entuumo.