2 Chronicles 32:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma byonna, Kezekiya bye yali akoze n'omutima gwe gwonna, Sennakeribu kabaka wa Assuri yalumba Yuda, n'azingiza ebibuga okuli ebigo ng'ayagala abiwambe abyezze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo byonna Keezeekiya bye yakola n’obwesigwa, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’alumba Yuda, n’asiisira ebweru w’ebibuga ebiriko bbugwe, n’alowooza mu mutima gwe okubyetwalira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lw'ebyo byonna Keezeekiya bye yakola n'obwesigwa bwe byagwa, Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'ajja n'alumba Yuda, n'asiisira okwolekera ebibuga ebiriko ebigo ebigumu, n'alowooza mu mutima gwe okubyetwalira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo Heezeekiya bye yakola n'obwesigwa bwe byaggwa, Sennakeribu kabaka w'Assiriya n'ajja n'azinda Buyudaaya n'asiisira okwolekera ebibuga ebiriko ebigo ebigumu, ng'ateekateeka okubiwamba abyefuge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluvannyuma lw'ebyo n'obwesigwa obwo Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'ajja n'ayingira mu Yuda, n'asiisira okwolekera ebibuga ebiriko enkomera, n'alowooza okubyeriira.