2 Chronicles 32:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kino Sennakeribu kabaka wa Assuri ky'agamba: ‘Mwesiga ki mmwe okusigala mu Yeruzaalemu nga kizindiddwa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mwesiga ki okusigala mu Yerusaalemi nga kizingiziddwa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'atyo bw'ayogera Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli nti Mwesiga ki n'okulinda ne mulinda okuzingizibwa mu Yerusaalemi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Sennakeribu kabaka wa Assiriya agamba bw'ati nti: ‘Mwesiga ki okulinda okuzingizibwa mu Yerusaalemu?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli nti Mwesiga ki n'okulinda ne mulinda okuzingizibwa mu Yerusaalemi?