2 Chronicles 32:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Si y'oyo yennyini Kezekiya eyaggyawo ebifo bye ebigulumivu n'emyaliiro gye, n'alagira Yuda ne Yeruzaalemu nti: “Musinzizanga ku mwaliiro gumu, okwo kwokka kwe mwokeranga ebitambiro”?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Keezeekiya si ye yaggyawo ebifo ebigulumivu n’ebyoto, n’alagira Yuda ne Yerusaalemi ng’agamba nti, “Munaasinzizanga mu maaso g’ekyoto kimu, era okwo kwe munaayoterezanga obubaane”?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Keezeekiya oyo si ye yaggyawo ebifo bye ebigulumivu n'ebyoto bye, n'alagira Yuda ne Yerusaalemi nti Munaasinzizanga mu maaso g'ekyoto ekimu kyokka, era okwo kwe munaayotererezanga obubaane?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Heezeekiya oyo si ye yaggyawo ebifo bya Mukama ebigulumivu ne alutaari ze, n'alagira abantu b'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu nti: ‘Munaasinzizanga mu maaso ga alutaari emu yokka, era okwo kwe munaayotererezanga obubaane?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Keezeekiya oyo si ye yaggyawo ebifo bye ebigulumivu n'ebyoto bye, n'alagira Yuda ne Yerusaalemi nti Munaasinzizanga mu maaso g'ekyoto ekimu kyokka, era okwo kwe munaayotererezanga obubaane?