2 Chronicles 32:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani mu balubaale bonna ab'amawanga bakitange ge baazikiriza eyasobola okuggya abantu be mu mikono gyange, kwe muba musinziira okugamba nti Katonda wammwe anaasobola okubaggya mu mikono gyange?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani ku bakatonda abamawanga ago bajjajjange ge baazikiriza, eyayinza okubalokola mu mukono gwange? Katonda wammwe anaabawonya atya mu mukono gwange?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda ki ku bakatonda bonna ab'amawanga gali bajjajjange ge baazikiririza ddala, eyayinza okuwonya abantu be mu mukono gwange, Katonda wammwe asobole okubawonya mu mukono gwange?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lubaale ki ku balubaale bonna ab'amawanga ago bajjajjange ge baazikiririza ddala, eyasobola okuwonya abantu be okubaggya mu mikono gyange, Katonda wammwe alyoke asobole okubawonya mmwe, abaggye mu mikono gyange?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda ki ku bakatonda bonna ab'amawanga gali bajjajjange ge baazikiririza ddala, eyayinza okuwonya abantu be mu mukono gwange, Katonda wammwe ayinze okubawonya mu mukono gwange?