2 Chronicles 32:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya aleme nno kubalimbira bwereere na kubawubisa bw'atyo. Temukkiriza, kubanga tewali lubaale n'omu ow'ensi oba obwakabaka eyali asobodde okuwonya abantu be mu mikono gya bakitange ne mu mikono gyange, leero alabisa ono Katonda wammwe! Y'anasobola okubawonya mu mukono gwange?’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno, Keezeekiya aleme kubalimbalimba newaakubadde okubasendasenda mu nsonga eyo. Temumukkiriza, kubanga tewali katonda ow’eggwanga lyonna oba bwakabaka, eyayinza okulokola abantu be mu mukono gwange newaakubadde eyayinza okubalokola mu mukono gwa bajjajjange. Kale Katonda wammwe alibawonya atya mu mukono gwange?’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno Keezeekiya aleme okubalimba newakubadde okubabuzabuza bw'atyo, so temumukkiriza: kubanga tewali katonda ow'eggwanga lyonna oba bwakabaka, eyayinza okuwonya abantu be mu mukono gwange ne mu mukono gwa bajjajjange. Kale olwo Katonda wammwe anaabawonya atya okubaggya mu mukono gwange?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Heezeekiya aleme kubalimbalimba wadde okubasendasenda bw'atyo, era temumukkiriza, kubanga tewali lubaale wa ggwanga na limu oba bwakabaka, eyasobola okuwonya abantu be n'abaggya mu mikono gyange n'egya bajjajjange. Kale olwo Katonda wammwe anaabawonya atya okubaggya mu mikono gyange?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno Keezeekiya aleme okubalimba newakubadde okubasendasenda bw'atyo, so temumukkiriza: kubanga tewali katonda ow'eggwanga lyonna oba bwakabaka, eyayinza okuwonya abantu be mu mukono gwange ne mu mukono gwa bajjajjange: kale okusinga ennyo Katonda wammwe alibawonya atya mu mukono gwange?