2 Chronicles 32:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sennakeribu yawandiika n'ebbaluwa ezivuma Omukama, Katonda wa Yisirayeli, n'okumwogerera nti: “Nga balubaale b'amawanga amalala bwe bataasobola kuwonya bantu baabwe mu mikono gyange, ne Katonda wa Kezekiya bw'atyo bw'ataasobole kubanzigya mu mikono.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka oyo n’awandiika n’amabaluwa agavuma Mukama Katonda wa Isirayiri, ng’agamba nti, “Nga bakatonda abamawanga ag’ensi bwe bataabawonya mu mukono gwange, bw’atyo ne Katonda wa Keezeekiya bw’ataliwonya bantu be mu mukono gwange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'awandiika ebbaluwa okuvvoola Mukama Katonda wa Isiraeri, n'okumwogerako obubi nti, “Nga bakatonda b'amawanga ag'omu nsi endala bwe bataawonya bantu baabwe mu mukono gwange, bw'atyo ne Katonda wa Keezeekiya bw'atajja kuwonya bantu be mu mukono gwange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'awandiika ebbaluwa okuvvoola Mukama Katonda wa Yisirayeli, n'okumwogerako obubi nti: “Nga balubaale b'amawanga ag'omu nsi endala bwe bataawonya bantu baabwe okubaggya mu mikono gyange, bw'atyo ne Katonda wa Heezeekiya tajja kuwonya bantu be kubaggya mu mikono gyange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'awandiika okuvvoola Mukama Katonda wa Isiraeri, n'okumwogerako obubi nti Nga bakatonda b'amawanga ag'omu nsi endala abataawonya bantu baabwe mu mukono gwange, bw'atyo ne Katonda wa Keezeekiya bw'ataliwonya bantu be mu mukono gwange.