2 Chronicles 32:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne baleekaanira waggulu mu Luyudaaya eri abatuuze b'omu Yeruzaalemu abaali batudde ku kigo, babatiise, babatabule, balyoke bakwate ekibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bakoowoola abantu ba Yerusaalemi abaali ku bbugwe mu lw’Ebbulaniya, nga babatiisatiisa baggweemu amaanyi, balyoke bawambe ekibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ababaka ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene mu lulimi olw'Abayudaaya eri abantu ab'e Yerusaalemi abaali ku bbugwe, okubatiisa, n'okubakanga, bo balyoke bawambe ekibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ababaka ne baleekaana nnyo nga boogera ebigambo ebyo mu lulimi lw'Abayudaaya nga bigamba abantu b'e Yerusaalemu abaali ku kigo ky'ekibuga okubakanga n'okubatiisa, bo balyoke bawambe ekibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene mu lulimi olw'Abayudaaya eri abantu ab'e Yerusaalemi abaali ku bbugwe, okubatiisa, n'okubeeraliikiriza; balyoke bamenye ekibuga.