2 Chronicles 32:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bayogera ku Katonda wa Yeruzaalemu nga bwe bandyogeredde ku balubaale b'amawanga g'ensi abaakolebwa emikono obukono egy'abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne boogera ku Katonda wa Yerusaalemi nga bwe baayogeranga ku bakatonda abamawanga amalala ag’omu nsi endala, abakolebwa abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne boogera ku Katonda wa Yerusaalemi nga bwe boogera ku bakatonda ab'amawanga ag'omu nsi, abakolebwa n'emikono gy'abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne boogera ku Katonda wa Yerusaalemu nga bwe boogera ku balubaale ab'amawanga ag'omu nsi abantu be beekolera n'emikono gyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne boogera ku Katonda ow'e Yerusaalemi nga bamufaananya bakatonda ab'amawanga ag'omu nsi omulimu gw'emikono gy'abantu.