2 Chronicles 32:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya kabaka ne Yisaaya omulanzi mutabani wa Amozi ne balaajana eri eggulu olw'ebyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kabaka Keezeekiya ne nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi ne basaba nga bakaabira eri eggulu ku nsonga eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Keezeekiya kabaka ne nnabbi Isaaya, mutabani wa Amozi ne basaba Katonda, ne bamwegayirira ku nsonga eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Heezeekiya kabaka ne Yisaaya omulanzi mutabani wa Amozi ne basaba Katonda, ne bamwegayirira olw'ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Keezeekiya kabaka ne Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi ne basaba olw'ekigambo ekyo ne bakaaba eri eggulu.