2 Chronicles 32:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'atuma malayika, n'azikiriza buli musajja omutabaazi, abakulembeze n'abagabe mu lusiisira lwa kabaka wa Assuri. Sennakeribu n'addayo mu nsi ye ng'aswadde. Bwe yayingira mu kiggwa kya lubaale we, abamu ku batabani be ne bamutta n'ekitala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’atuma malayika, n’atemaatema abasajja abalwanyi abazira ab’amaanyi bonna n’abaduumizi, n’abakungu mu nkambi ya kabaka w’e Bwasuli. Sennakeribu n’addayo mu nsi ye ng’ensonyi zimukutte. Bwe yayingira mu yeekaalu ya katonda we, abamu ku batabani be ne bamutta n’ekitala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'atuma malayika n'asaanyaawo abasajja bonna ab'amaanyi abazira n'abaduumizi b'eggye mu lusiisira lwa kabaka w'e Bwasuli. Sennakeribu n'addayo mu nsi ye ng'aswadde. Awo bwe yatuuka mu ssabo lya katonda we, abamu ku batabani be ne bamutemula n'ekitala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'atuma malayika, n'asaanyaawo abaserikale bonna ab'amaanyi abazira n'abaduumizi, n'abakulu b'eggye mu lusiisira lwa kabaka wa Assiriya. Awo kabaka w'Assiriya n'addayo mu nsi ye ng'aswadde. Awo bwe yatuuka mu ssabo lya lubaale we, abamu ku batabani be ne bamutemula n'ekitala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'atuma malayika n'amalawo abasajja bonna ab'amaanyi abazira n'abakulu n'abaami mu lusiisira lwa kabaka w'e Bwasuli. Awo n'addayo mu nsi ye amaaso ge nga gakwatiddwa ensonyi: Awo bwe yatuuka mu ssabo lya katonda we, abo abaava mu ntumbwe ze ye ne bamuttira eyo n'ekitala.