2 Chronicles 32:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'atyo Omukama n'awonya Kezekiya n'ab'omu Yeruzaalemu okuva mu mikono gya Sennakeribu kabaka wa Assuri ne mu mikono gy'abalala bonna; Omukama n'abawa obuweerero ku njuyi zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’alokola Keezeekiya n’abantu ba Yerusaalemi mu mukono gwa Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli ne mu mukono gw’abalabe baabwe bonna abalala. N’abaakuumanga enjuuyi zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo Mukama bwe yawonya Keezeekiya n'abo abaali mu Yerusaalemi mu mukono gwa Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli, ne mu mukono gw'abalala bonna n'abaluŋŋamya enjuyi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo Mukama n'awonya Heezeekiya n'abo abaali mu Yerusaalemu n'abaggya mu mikono gya Sennakeribu kabaka wa Assiriya, ne mu mikono gy'abalabe baabwe abalala bonna, n'abaluŋŋamya ku njuyi zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo Mukama bwe yawonya Keezeekiya n'abo abaabeeranga mu Yerusaalemi mu mukono gwa Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli ne mu mukono gw'abalala bonna n'abaluŋŋamya enjuyi zonna.