2 Chronicles 32:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bangi ne baleetanga ebirabo mu Yeruzaalemu ew'Omukama n'ebintu eby'omuwendo ewa Kezekiya kabaka wa Yuda. Okuva olwo amawanga gonna ne gamussaamu ekitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bangi ne baleetera Mukama ebirabo e Yerusaalemi, ne Keezeekiya kabaka wa Yuda n’afuna ebirabo eby’omuwendo omungi. N’okuva ku lunaku olwo n’aweebwa ekitiibwa kinene mu mawanga gonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bangi ne baleetera Mukama ebirabo e Yerusaalemi, Keezeekiya kabaka wa Yuda, ne bamuwa ebintu eby'omuwendo omungi. N'okuva ku lunaku olwo n'aweebwa ekitiibwa kinene mu mawanga gonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bangi ne bajja e Yerusaalemu nga baleetera Mukama ebitone, ne Heezeekiya kabaka wa Buyudaaya amakula ag'omuwendo. Okuva olwo Heezeekiya amawanga gonna ne gamussaamu ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bangi ne baleetera Mukama ebirabo e Yerusaalemi, n'ebintu eby'omuwendo omungi eri Keezeekiya kabaka wa Yuda: n'okugulumizibwa n'agulumizibwa mu maaso g'amawanga gonna okuva ku lunaku olwo.